Firimu ya District 9 Eyingiddewo
Firimu ya District 9 nga yazannyibwa mu South Africa ya mulembe nnyo. Awatali kubuusabuusa kino kirungi nnyo eri Neill Blomkamp (ka-CHING!) naye liyinza okuba eddaala eddene eri abakozi ba firimu e South Africa. Wetuwandikira bino nga firimu eno emaze okuteekebwa mu firimu 100 ezisinga obulungi ezaali zibaddewo nga okusengeka kuno kwakolebwa IMDB.com. Omuwandiisi omu mu … Read more
Nokia eyingidde Muby’okutambuza Ensimbi
Nokia erangiridde Nokia Money, enkola empya enasobozesa abalina amasimu okuwereze n’okufuna sente nga bakozesa namba ya ssimu yabwe. TechCrunch ewandiise nti Nokia ya kutandika enkola eno mu 2010. Enkola eno yakukozesa kakisa k’abantu abangi abalina amasimu naye nga tebalina akawunta mu banka. Okusinziira ku kirangiriro: Abantu bomu byaalo be bajja okusinga okuganyulwa mu nkola eno. … Read more
Twitter ya Kuweereza SMS ku Zain
Twitter yandiba mu nteeseganya okuleeta SMS ezigenda wonna wabweeru wa America, Canada ne Bungereza. Enteeseganya zino ezirimu ne Zain. ArabCrunch n’ebisingawo… Kampuni y’omu Kuwait eya Zain nga ye kampuni y’amasimu eyokusatu mu gasinga obunene mu nsi nga ekolera mu mawanga 24 ekkaatirizza eri ArabCrunch nti bali mu nteeseganya ne Twitter okutandikawo enkola y’okuweerezanga SMS mu … Read more
SimbaNET eya Tanzania Yegasse ku SEACOM
Sabiiti ewedde mu Dar es Salaam, kampuni ebunya yintanenti mu Tanzania eya SimbaNET yegatta ku SEACOM. Issa Michuzi yalina ebisingawo: SimbaNet efuuse kampuni y’obwa nnakinoomu esoose okwegatta ku SEACOM, eyatongozebwa pulezident wa Tanzania Jakaya Kikwete nga 23 omwezi gwa kasambula 2009. Oluvanyuma lw’okugezesebwa mu ngeri ez’enjawulo, SimbaNET esobodde okuwanyisiganya ebyemupUlizanya wakati wa Dar Es Salaam … Read more
Omuzirakisa: MacGuyver Asisinkanye MacArthur
Pulogulaamu empya ku ttivvi nga yesigamye ku bulamu bwa nnaggaga omu mu Amerika amannyiddwa nga Bobby Sager ebuzaabuza enjawulo eriwo wakati w’okuwa n’obwagazi wamu ne bano abatambula ensi yonna mu kulambula nga kino kisinga kukolebwa bantu nga Jack Bauer ne Angus MacGuyver. Deborah Richardson awandiika… Leero kye kitundu kyomuzannyo ogumu eky’omunaana, nga gwesigamye ku bulamu … Read more
Ani Anaakuuma Kompyuta Zaabwe nga Zitambula Okukuuma Eddembe Ly’okwoogera
Okwetoloola ensi, abalina ebibanja ku yintanenti bagamba nti gyebuvuddeko, Russia yakola olulumba ku Facebook, YouTube, LiveJournal, wamu ne Twitter okusirisa omuwandiisi awagira eggwanga lya Georgia nga ye Cyxymu. Nga ensi yeyongera okubeera n’emikutu egigigatta, gavumenti zeyongera okwogera ku ntalo z’oku yintanenti, era mu butuufu, tukirabye nga kikozesebwa mu lutalo olusukka mu lumu. Wabula, ekyeyongera okweralikiriza … Read more
Dubai ewummuzza Ssente Obuwumbi 1.5 obwa Ddoola Ezibadde Zigenda Okusigibwa mu Afirika
Dubai World yalangiridde nti bagenda kugira balinzeeko okuteeka mu nkola pulojekiti ezimu mu mitendera gye babadde bategeka mu Afirika, nga ogasseeko 6 ku pulojekiti 8 ez’obulambuzi ezibadde zitegekebwa mu Rwanda. Kampuni yagambye nti, “Dubai World ewummuzizza pulojekiti ezimu paka nga embeera z’obutale zeyongedde okulongooka, nga ogasseeko ebyobulambuzi mu Afirika nawalala” Bannamakolero okuva mu kyombo kya … Read more
Obulumbaganyi ku SMS Obusoose: Bukoleddwa mu Chayina
Darknet erangiridde nti kampuni emu mu Chayina ekoze obuntu obutaataganya enkola y’essimu (womu)nga buyita mu SMS. Eno ye womu esoose ku ssimu. Obutagibuzaabuza na kulumbwa okwaliwo gyebuvuddeko ku iPhone, womu eno erumba ssimu ezikozesa Symbian. Symbian ekozasebwa ku ssimu ebitundu 46.6% n’olwekyo luno olulumba lutiisa okusinga olwa iPhone (essimu za iPhone ziri ebitundu 20% byokka). … Read more
Google Essajjawadde
Kiyinza okuba nga ekivumo okugamba nti kampuni engagga ennyo nga Google etandise okukula naye mpuliriza. Ekimu ku bintu ebibadde bisinga okuvumaganya Google kya kuba nti tebabadde ne nkola essuka ku kunoonya (Google search). Okutuuka leero, bwentyo bwembadde nkiraba. Naye okuva olwa leero endowooza eyo erina okuziikibwa oluvannyuma lw’ekirango ky’omuggukano (Google Chrome Operating System). Buli omu … Read more
Vivendi ya Kwenyigira Muby'empuliziganya mu Africa
Vivendi ewaddeyo okusaba kwaayo okugula kampuni y’ebyempuliziganya mu Afirika eya Zain, nga baagala omugabo ogusinga mu kampuni eno. Amawulire ga Financial Times gagamba nti… Vivendi erina emigabo mu Maroc Telecom egisobozesa okuddukanya kampuni eno, nga ye kampuni y’amasimu esinga obunene mu ggwanga lya Morocco. Kampuni eno erina n’amatabi mu Burkina Faso, Gabon wamu ne Mauritania. … Read more