Twitter Ejja Mu Lulimi Lwo
Okumala ebbanga ddene babadde mu lungereza na Lujapani. Kati Twitter etandise okunonya enzivunula ku mukutu gwabwe. Bagenda kutandika n’olugirimaani, Olusipaana, Olufaransa wamu n’oluyitale. Omukutu gwa Twitter gugamba : Twitter kati esobola kufunibwa mu lungereza na lujapani. Nga tufunye obuyambi obwenjawulo, gyebbujja tugenda kutongoza enkola mu lufaransa, oluyitale, olugirimaani, wamu n’olusipaana. Ennimi zino zibadde zogerwako nga … Read more
Nokia ye Kampuni ya Tekinologiya Esinga Obuggumivu mu Nsi Yonna
Bannabyabutale aba Dow Jones balonze Nokia nga kampuni esinga obuggumivu mu kutangaaza kwabwe okwomwaka 2009/2010. Oluvannyuma lwokukulembera e Bulaaya okumala emyaka egiwera, Nokia efuuliddwa “Kampuni ekulembedde ensi yonna mu tekinologiya”. ITNewsAfrica egamba: Nokia ebadde egatta ebitwetolodde wamu n’enkola enzigumivu mu ngeri gyebadde eddukanyaamu bizinesi okumala emyaka egisukka mu 10 era kampuni erowoza nnyo ku byobutonde … Read more
Kalimagezi eri Afirika: IBM ne Canonical Begasse
IBM yegasse ne Canonical okukendeeza ku bbeeyi ya bu kompyuta obutono obuyitibwa netbooks. Basuubira okukozesa enkwaso eziri ku yintanenti okukendeeza ebbeeyi ya sofutiweya wamu nebitundu bya kompyuta ebyebbeeyi. netbooks zino zijja kujja nga osobola okuwereza ebbaluwa ya email, okukola ebiwandiiko, okuwanyisiganya obubaka, wamu n’okwegazanya n’abalala. Triangle Business Journal ewandiika… Bizinesi nnyingi mu Afirika tezisobola kugula … Read more
South Africa Etongozza Satelayiti Ey'okubiri
Sabiiti ewedde, South Africa yatongoza satelayiti yaayo eyokubiri, ku luno nga eva Baikonur mu Kazakhstan. Nga ogasseeko okulondoola eby’obulimi wamu n’enkola yebyentabula, satelayiti eno ejjakulondoola abantu abayingira n’abafuluma mu South Africa wamu n’obungi bwamazzi ku mabibiro n’ebidiba. Bino byonna birina okusobozesa ekitongole kyebyobulimi okufuna obubaka mu bwangu, nga kiyamba abalimi okugumira obuzimu mu makungula obuva … Read more
Bannamawulire Begasse Okulwanirira Serumaga
Obwegugungo obwaaliwo e Kampala gye buvuddeko bweyongedde okusajjuka. Ekibiina ekigatta bannamawulire mu Kenya kiwandiise ekibaluwa ky’olwaatu ku lwa munnamawulire Kalundi Serumaga eyakwatibwa mu biseera by’amasattira wiiki ewedde wano e Kampala: Okukwatibwa kw’omuwandiisi, munamawulire era nga munnakatemba Kalundi Serumaga nga kwakolebwa mu bumenyi bwamateeka era nga kwakolebwa abantu abatamanyiddwa nga abebyokwerinda nga 11 Mutunda 2009 kintu … Read more
Obutabanguko mu Kampala, Abatuuze Beyunira Twitter
Tujjukira ebyaaliwo ku lwokuna lwa wiiki ewedde obusambattuko bwe bwabalukawo mu kibuga kyaffe ekikulu Kampala. Bwoba nga obeera wabweeru wa Uganda, oyinza okuba nga tewamanya byaaliwo. BBC yagezaako okubyogerako mu bujjuvu, naye ate CNN, France24 ne SkyNews tabaabigoberera mu ngeri y’emu. Ffe wano e Kampala twaali twelariikirira nti ekibugga kyaffe ekyaagalwa kyaali kigenda kutaaguuka kijjemu … Read more
Enkwaaso ya ADM Eyitiddwa Congo, Tetwagala Ntalo
AMD nga be bamu ku basinga okukola obuuma okubeera enkwaaso z’okukozesa mu kalimagezi (chip) bakozeeyo ka chip akapya ke bayise Congo. Ka kompyuta akatono akaasooka okukolera ku tekinologiya ono kalangiriddwa jjuuzi mu Ferrari One. Era nga bwe kyabadde kisuubirwa, AMD banenyezeddwamu olwokutuuma ka chip kano erinnya Congo nga ate Coltan nga kino kya bugagga ekisimwa … Read more
eBillme, Enkola Erinze Okusibwaawo nga Eringa PayPal
Katweyongereyo n’emboozi yaffe ku bintu ebiyinza okudda mu kifo kya PayPal mu Afirika yaffe. eBillme nkola mpya eyatongozebwa mu Amerika, nga esobozesa abantu abatalina kaadi ya Credit card okusasula ku yintanenti. Nga PayPal, MoneyBookers, Google Checkout n’ebirala, eBillme nkola eyetagisa okusobozesebwa emikutu gya yintanenti. eBillme ekola etya? 1.Genda ku mukutu gwogulako ebintu ku yintanenti osalewo … Read more
Ddala Afirika Yetaaga Yintanenti?
Lepetitnegre abuuza, nga bwanokolayo nti, wadde nga ebitundu ebisinga mu nsi bitwaala ekyokuba ne yintanenti nga eddembe ly’obwebange, mu Afirika kino kikyaali kirooto. Emikutu tegiriiwo, amawanga agasinga gakyaali mabega nnyo, n’olwekyo enkulaakulana mu tekinologiya nzibu ya kulaba mu kiseera ekijja. Ebyempuliziganya birina okulabibwa nga ekkubo, sso ssi nga enkomerero ya byonna. Kye ng’amba, tekirina mugaso … Read more
GLO-1 Egguse e Nigeria: Mukutu Gwakubiri Okutuuka e Bugwanjuba bwa Afirika
Gyebuvuddeko, GLO-1 omukutu gwa waya eva e Bungereza okutuuka e Nigeria nga ya buwanvu bwa kilo mita 9,800, era nga y’esoose okukolebwa kampuni kin’omu, gwatuuse mu kibuga Lagos ekya Nigeria. GLO-1 esuubirwa n’okutuuka ne mu Accra Ghana. Emikutu egisinga egiyita wansi w’amayanja, nga ogasseeko ne SAT-3 ogugatta obugwanjuba bwa Afirika ku nsi yonna, gyazimbibwa na … Read more